Mu muzannyo ogwa kaasammeeme nga guno, abagezi ssente bazikutwalako lwotunze.
bya Nik Custodio 2013/12/12open in new window
Bitcoin bwaba akyaganye okutegeerekeka...
Tutudde ku katebe. Lunaku lulungi.
Nnina omucungwa gumu. Ngukuwadde.
Kati olina omucungwa gumu, nze sikyalina.
Kyangu, sikyo?
Katwetegereze ekigenze mu maaso awo:
Omucungwa ngutadde mu ngalo zo.
Nawe okyelabiddeko. Mbaddewo. Nawe obaddewo. Ogukutte noggukwata.
Tetwetaaze muntu waakusatu kunnyamba kukuwa mucungwa ogwo. Tetwetaaze kukubira Uncle Tommy( omutabaganya) kujja kutuula naffe ku katebe okukakasa nti omucungwa ngukuwadde.
Omucungwa gugwo! Sikyasobola kukuwa mucungwa mulala kubanga jimpeddeko. Gwenkuwadde sikyagulinako buyinza naakamu kati. Gwe agulinako obuyinza bwonna. Osobola okuguwa mukwano gwo bwoba oyagadde, era nooyo gwoguwadde asobola okuguwa munne. Bwebatyo.
Kwegamba enkolagana mu byamaguzi bwetyo bwefaanana muntu-ku-muntu. Bwekityo bwekiba oba nkuwa lyenvu, kitabo, kapapula ka sente...
Naye awo mba ng'enze wala
Tuddeyo ku micungwa
Kati tugambe nina omucungwa gumu ku kompyuta. Kangukuwe.
Eeh! Anti bikyuseemu.
Omanya otya oba omucungwa ku kompyuta guno ogubadde ogwange kati gugwo ,era gugwo wekka? Kilowoozemu kko awo akadakiika.
Kikalubamu ko, sikyo? Omanya otya oba omucungwa ogwo ssaasoose kuguweerezza Uncle Tommy mu email? Oba mukwano gwo Joe? Oba ne mukwano gwange Lisa
Osanga nakozeeyo kkopi zoomucungwa ogwo ku kompyuta yange. Oba nagutadde ku mutimbagano akakadde ka'bantu nekaguwanulayo.
Nga bwolaba, enkolagana eno ku kompyuta elimu obuzibuzibu. Okuweereza emicungwa ku kompyuta ssikyekimu nookuweereza emicungwa mu buntu.
Banna kompyutassaayansi balina elinnya lyekizibu kino: kiyitibwa kizibu kya kusaasaanya mirundi ebiri. Naye tofaayo. Kyeweetaaga okumanya wano kili kimu: Ekizibu kino kibabobbezza omutwe okumala ebbanga era kikyabalemye okugonjoola.
Paka kati.
Naye katugezeeko okukigonjoola mu ngeri yaffe.
Enkalala
Osanga emicungwa gino ku kompyuta jilina kulondoolwa ku lukalala. Gweggamba ngeri ya kitabo mwolondoolela empanyisiganya zonna mu byamaguzi.
Olukalala luno, engeri gyeruli ku kompyuta, lwetaaga kuba mu nsi yaalwo n'omuntu aluvunaanyizibwako.
Nga mu World of Warcraft(muzannyo ku kompyuta). Blizzard, abaakola omuzannyo ogwo, balina "olukalala ku kompyuta" olwebikwata ku muzannyo ogwo byonna, omuli n'ebyobugagga by'abazannyi mu muzannyo. Ndowoza omuntu nga Blizzard atuterekere emicungwa gyaffe gyetutambuliza ku kompyuta. Kyakabi - ekizibu tukigonjodde!
Ebizibu
Wakyaliwo ebizibu ebirala:
Watya nga omuyaaye omu ku Blizzard ayozezza mu micungwa gyaffe naakola emirala nga ggyo? Ekyo asobola okukikola wonna waayagalidde.
Tekili nga bwetwabadde ku katebe nga tuli babili ffekka. Okukwasa Blizzard obuvunaanyizibwa kuba nga kuyita Uncle Tommy(omutabaganya) ku buli kyetuwaanyisiganya ku katebe kaffe. Nabwekityo, nkuwa ntya omucungwa ku kompyuta mu ngeri eyaabulijjo?
Waliwo engeri y'okukolagana nga bwetwabadde ku katebe kaffe, nze nawe, naye ku kompyuta? Kilinga ekizibuzibu...
Okugonjoola ebizibu byaffe
Watya nga tulina olukalala nga lwa buli omu? Mu kifo ky'okubeera ku kompyuta za Blizzard, lujja kuba ku kompyuta ya buli muntu. Buli nkolagana yali ebaddewo mu micungwa ku kompyuta ewandiikibwe omwo.
Tosobola kufera. Sisobola kukusindikira micungwa gyessilina, kubanga enkalala zaabalala zijja kuba tezikwatagana na zaffe. Sistimu eno eba nzibu yaakufereramu gyekoma okukula.
N'ekirala, olwokuba teddukanyizibwa muntu omu, mba nkimanyi nti teli asobola kusalawo kumala geegabira micungwa mirala. Amateeka ga sistimu magereke kuva mu ntandikwa. Kweggamba sistimu ezimbibwa ku nsonda nzigule. Weeli eli buli mugezi yenna mu nsi okujeetegereza, okujiddaabiriza oba okujongerako mu ngeri yonna.
Nawe osobola okwenyigira mu mukutu guno era noobaako kyoyongera ku lukalala, nookukakasa nti teruliimu mavuunya. Olw'omulimu omulungi ogwo gwoba okoze, oyinza okuwebwayo emicungwa ku kompyuta nga 25. Nga ovudde ne kyekyo, yeeyo engeri yokka emicungwa ku mukutu guno gyejitondebwawo (mu birabo nga bino).
Nkugondezzaamu nnyo awo
... naye nga sistimu gyenkunnyonnyodde gyeli. Eyitibwa Bitcoin. N'egyo emicungwa gya kompyuta ziba "bitcoin" mu sistimu eyo. Massape meereere!
Ndowooza ekibaddewo okirabye. Olukalala luno olw'olukale lusobozesa ki?
Ojjukira nti sistimu eno ya nsonda nzigule? Omuwendo gw'emicungwa gwagerekebwa kuva ku ntandikwa.Omuwendo ogwo gumanyikiddwa. Mu sistimu ,emicungwa gya bbula.
Bwenkola okuwanyisiganya okwengeri yonna kati mba mmanyi nti omucungwa oguvudde mu mikono gyange ne gudda mu gigyo ,gugwo ewatali kubuusabuusa. Edda ssibwekyabanga ku bintu ebiwanyisiganyizibwa ku kompyuta. Naye kati ku lukalala olw'olukale empanyisiganya eyo esoboka.
Olw'okuba nti olukalala lwa lukale, sseetaaga Uncle Tommy(omutabaganya) okukakasa nti ssikubbye, sseewadde micungwa mirala mu bukyamu,oba ssisindize mucungwa gwegumu mirundi ebiri oba esatu.
Mu sistimu yaffe eno, okuwanyisiganya omucungwa kati kilinga kuguwanyisa mu buntu. Nga bwegunaava mu ngalo zange negudda mu nsawo yo nga ogulabako. Era nga bwetwabadde ku katebe, okuwanyisiganya kuno kwetaga abantu babili bokka,nze nawe.Uncle Tommy (omutabaganya) takyetaagisa kuziyiza bukumpanya mu sistimu yaffe kuba tebukyasoboka.
Mu bufunze , sistimu elinga nkolagana mu mbeera eyabulijo.
Ng'ojjeeko ekyo,byonna kati tubikolera ku kompyuta. Tusobola okuwanyisiganya emicungwa 1000, kakadde oba ne mu bitundutundu. Nebwemba emitala wa Mayanja ,nyiga bunyizi mapeesa ku kompyuta yange nenkuweereza emicungwa ku kompyuta yo wonna wooli.
Olwokuba kati tujitambuliza ku kompyuta ,nsobola n'okugattako obubaka obulala bwonna .Oba katugeze obubaka obwenkizo nga ebikwogerako.
Kale byonna byogeddwa. Naye tufuna tutya omugaso micungwa gino gyetutakwatako. Anti gya mugaso sikyo?
Abantu banji ensonga eno ekyabakubaganya empawa. Mu masomero g'ebyenfuna. Mu bannabyabufuzi. Mu bawandiika ebiragiro bya kompyuta. Naye bonna tobawuliriza. Abamu bagezi. Abalala tebamanyi bumanya. Abamu bagamba sistimu gyenkunnyonnyodde yamuwendo nnyo, abalala bagamba teliimu kantu. Abamu bajiteekako n'omuwendo.$1,300 buli mucungwa. Abamu bagamba zaabu ali digito, abandi nti ssente. Abalala nti byonna mpewo. Abamu bagamba nti ejja kukyusa ensi, abalala nti byonna bya mpuna.
Nange nnina endowooza yange.
Naye olwo lugero lwa lulala. Naye nga kyolina okumanyi nti kati omanyi binji ku Bitcoin okusinga abantu abasinga.
Manya ebisingawo(Byakoma kwongerwako mu 2017)
โYou Donโt Understand Bitcoin Because You Think Money is Realโopen in new window by Maria Bustillosopen in new window is a good follow-up read.
You can also read more about Ethereum and Smart Contracts hereopen in new window. Enjoy!