Tunaagatta tutya abantu bonna kunsi ku muyungagano gw'akamyanso?
bya John Cantrell 2022/01/05open in new window
Nabazeebazeemu, katulabe ekyetagisa okugatta abantu bonna mu nsi ku muyungagano gw'akamyanso ,banga ki lyekinaatwala and ngeri ki gyetuyinza okukyanguyamu.
Okwegatta ku muyungagano gw'akamyanso kyetagisa okusindika btc mu mpanyisiganya embereberye nga ya mikono 2-ku-2 ne munno mu mukutu. Okukakasa nti ebbanga ly'omuteeko likozeseddwa bulunji twagala akayingiza ya segwit nnansagwa 1 n'akafulumya kamu mu mpanyisiganyaa embereberyemu mukutu. Kino kizaala empanyisiganya ya vbaiti 121.
Singa empanyisiganya zonna mu muteeko za sayizi eno, tuba tugatta abantu nga 8,264 ku kamyanso buli muteeko. Bwetuba n'omuwendo gw'abantu obuwumbi 7.753, kijja kwetaagisa emiteeko nga 938,166 oba emyaka 17.8 buli muntu ku nsi okuba ne n'omukutu.
Tusobola okkola ekisingawo? Tusobola mu ngeri ezitali zimu. Engeri emu esoboka olwaleero ya kulenga. Okulenga kitegeeza tusobola okuggulawo omukutu ogusoba mu gumu ku mpanyisiganya emu. Kitegeeza era nti buli mukutu ogwongerwako gusobola okukiikirirwa akafulumya akalala mu mpanyisiganya embereberye.
Buli kafulumya akongerwako kamalawo vbaiti nga 32. Mu kulenga bwekiba kyetaagisa okujjuza muteeko na mpanyisiganya 1 nga elina kayingiza 1 n'obufulumya bwonna obusoboka okusonsekebwamu. Ku vbaiti 32 buli kafulumya tuba tusobola okuggula emikutu 31,247 buli muteeko!
Okulenga kutereeza mu kibalo kyaffe emirundi 3.78 era n'obudde obwetaagisa okugatta abantu bonna ku nsi ku kamyanso bukendeera paka ku myaka 4.7. Kino sikibi naye tuba tugereesezza nti tuli baakukozesa bbanga lyonna mu muteeko kumpi emyaka 5 egy'omuddiring'anwa. Mu butuufu kijja kutwala ebbanga ggwanvu ko. Tusobola okukola ekisingako newano?
Mwattu tusobola, lwakuba ssikyangu essawa ya leero. Tuba twetaaga okunyiga abantu babili buli mukutu era netufuutiika emikono okukuuma sayizi y'obufulumya nga ntono. Omukutu gw'abangi gwongera emikono okuva ku 2-ku-2 paka ku gyisingako awo(N-ku-N).
Mu buwandiike N eno yandiba 10,100, oba ne 1000. Ku bantu 10 buli kanaali tusobola okugatta abantu 312,470 buli muteeko n'ensi yonna mu nnaku 172 zokka. Yadde okulenga kutuwadde enkyukakyuka mu busobozi bw'omuyungagano, emikutu gy'abangi ate zitwongerako nnyo n'okusingawo.
Mu buwandiike emikutu gino gisobola okuzimbibwa leero nga teli kikyusiddwa ku Bitkoini naye kiba kyetaagisa obukugu bwamanyi olw'emisoso egyili mu ngeri abacupuzi gyebabonerezebwa mu muyungagano gwa'kamyanso. Empanyisiganya z'okukkaliza okwa nnabansasaana eza Eltoo zigondeza ddala engeri y'okuteeka mu nkola emikutu gy'abangi.
Kwegamba tusobola okugatta abantu mu nsi yonna ku kamyanso mu budde ,sikyo? Kilabika ye kyekyokuddamu,gyebinaggwera nga kisobose. Buli omu ku nsi anaayagala okuba ku kamyanso n'omukutu ogugwe? Sikiwa naye kansuubire kyekyo!