Okutegeera omuyungagano gw'akamyanso nga tukozesa abakaasi

bya Roy Sheinfeld 2018/03/25open in new window

Nfunye obubaka bunji nga bukwata ku kiwandiiko kyange ekyasembyeyo, Lightning Network is the Future of Bitcoinopen in new window. Bwembadde mbusomasomamu, kyeraga lwatu nti abasinga omuyungagano guno tebategeera nkola yaagwo. Mu kiwandiiko kino, ngenda kugezaako okumulungula ensonga ya emikutu gyokusasulagana nga ngereza ku abakaasi, ate nga ssiyingidde nnyo mu muddo.

Eno abakaasi:

Kati lowooza ku mukutu gunoopen in new window nga waya ya abakaasi ,nga embira ze bitkoini ezili mu mukutu. Alice ne Bob bwebatandikawo omukutu gwokusasulagana wakati wabwe, Alice ajja bitkoini ku blokceyini naazissa mu mukutu .Bitkoini zino(katugeze zili 10) kati sikyali za Alice. Mu kugeza kuno ,buli mbira yenkankana ne bitkoini emu.

Waya ya abakaasi n'omukutu gw'okusasulagana bilina byebifaanaganya:

-Wonna-wempita-ntuuka: nga embira bwezisobola okuyita mu waya okuva ku kkono oba ku ddyo, bitkoini zisobola okutambuzibwa okuva ku Alice okudda ku Bob oba okuva ku Bob okudda ku Alice. -Obwannannyini: mu abakaasi, embira ziba ku ddyo oba ku kkono ,wabula siwakati wa waya. Mu ngeri y'emu, bitkoini mu mukutu gw'okusasulagana zibeera za Alice oba Bob. -Ngereke: Nga bwekiri nti embira tezigattibwa oba teziyawulwa ku waya, Alice ne Bob basobola okuwanyisiganya bitkoini wakati waabwe, paka ku muwendo ogugerekebwa nga batandikawo omukutu gw'okusasulagana. Bwebaba baagala okusasulagana okusukka ku muwendo ogwo ,ekyo balina kukikolera ku blokceyini.

Omukutu gw'okusasulagana gufaanana bweguti oluvannyuma lwa Alice okusindikira Bob bitkoini 2:

Alice kati alina embira 8 ate Bob alina 2. Kati katugambe Bob akwataganye ne Carol mu mukutu omulala nga nagwo gwa bitkoini 10:

Mu mukutu gw'akamyanso, Alice asobola okusasula Carol ngayise mu Bob. Mu kugeza kwaffe nga tukozesa abakaasi, Alice bwayagala okusindikira Carol embira 2, atambuza embira 2 ku waya ye ne Bob ku ddyo(eri Bob), olwo Bob naye n'atambuza embira 2 ku waya ye ne Carol ku ddyo(eri Carol). Kifaanana bwekiti mu nkomerero:

Kyankizo okukinogaanya nti Bob bwakkiriza okwenyigira mu mulimu guno, tasobola kukkiriza mbira za Alice nga tatambuzza muwendo gwegumu eri Carol.

Nga tugereza ku abakaasi, kyangu okunnyonnyola entambuza y'ebinusu etali ya ku lujegere, era n'ebyetaago mukutu byegulina okutuukiriza okutandikibwawo. Okugeza kyeraga lwatu nti Alice tasobola kusindikira Carol mbira zisinga busobozi bwa Bob. Mpozzi mu dda kino kiyinza okusoboka nga bakozesezza AMPsopen in new window, naye eyo mboozi ya lulala...

Byosomye wano bwebiba bikuyambye, bambi tewerabira kukuba ku bugalo n'okusaasaanya obubaka buno.

Translators
Nasser Snoop

Supporters
HRF