Bitcoin Gulinga Muzannyo Gwa Mupiira

bya @thebitcoinrabbi 2021/01/13open in new window

Mbadde nnyinyonnyola nnyo ku ngeri #bitcoin bwakola n'engeri gyataliiko bufuzi bwankomeredde, nga bwekiba mu muzannyo gwonna. Kyandiyambako okuddamu ebibuuzo ebimu:

Q: Ani yavumbula omupiira?
A: Ekyo sikikulu. Buli omu mu nsi asobola okuzannya. Oba eyavumbula omuzannyo ayagala kukyusa mateeka gaagwo tebitukwatako. Endowooza ye eri omuzannyo sikikulu gyetuli.

Q: Ani ali mu mitambo gy'omuzannyo?
A: Teli, tusazeewo busazi kuzannya. Ffena tumanyi amateeka era tugassa mu nkola, ageezaako okubba yaagobwa mu muzannyo. Ayeewa obubonero obutali bubwe yamanyi.

Q: Tumanya tutya nti amateeka tegaakyuke?
A: Ffenna twagakkaanyizzaako mu ntandikwa, era yenna ayagala okusigala nga azannya alina kugagondera .Atayagala nga agenda azannyira ewalala.

Q: Teli asobola kubba?
A: Buli kimu kirabibwako buli omu. Ffena ekisaawe n'obubonero tubulaba. Yenna abba tumulabirawo era tumukwatirawo ku nkoona.

Q: Naye omuzannyo guno gulimu makulu ki?
A: Ffena twasazeewo okuzannya ,kitegeeza gwa mugaso gyetuli. Ayagala okutwegattako, alina okukkiriza nti omuzannyo gwaffe gwa muwendo

Nze ngulabamu amakulu, n'olwekyo gwamakulu. Amakulu gasinziira ku gwobuuzizza.

Q: Tebaaguwere?
A: Osanga,gavumenti esobola okuvaayo n'eguwera ,naye gwe teli asobola kukugaana kuzinga byayi byo n'ogusambira mu nju yo. Oli wa bigere byo na byayi byo teli asobola kubikujjako.

Q: Ngwegatteko?
A: Gwamanyi. Nze nguzannya era nnyumirwa. Wabula siyinza kukutegeerera.

Translators
Nasser Snoop

Supporters
HRF