Bitkoini Alinga

by Oleg Andreev 2017/12/10open in new window

Bitkoini alinga ssente zaabulijjo: tezizzika mabega era buvunaanyizibwa bwo okukuuma ezizo. Waleti yo bwekubulako ,sente zo zigenderamu. Osobola okuwa munno bitkoini zo naazikuterekera ,naye era kiba nga mu bbanka: Olina okwesiga nti ssente zo taabulewo nazo.

Bitkoini talinga ssente za bulijjo: osobola okutereka zonna z'oyagala era teziggya kkumalako bbanga. Osobola okuzisindikira omuntu yenna ku lukomo. Tezisobola kucupulwa. Tosobola kuzisaasaanya mu katikitiki: okukakasiza ddala nti empanyisiganya ebaddewo, kitwala eddakiika 10 ku 15 omuyungagano okulaga obukakafu.

Bitkoini alinga zzaabu: tomala gamutondawo, waliwo omuwendo gwe omugereke era gusaasaanira mu bbanga(obudde n'obwengula). Okufunayo ebinusu bya bitkoini oli alina kubikuwa, oba olina kubisima. Nga zzaabu, bitkoini amasamasa, asikiriza buli omu olwobukugu obwagenda mu kumuzimba, mpozzi n'ekisuubizo kye eky'eddembe okuva kubwa nnakyemalira obwengeri yonna.

Bitkoini talinga zzaabu: Obunji bw'ebinusu mu katale bugereke okusinzira ku nteekateeka y'ensima yaabyo( ebinusu ebisimibwa buli ssaawa bibale). Bitkoini tamala gasimibwa. Teli ayinza kuva eri naagamba yagudde ku kasozi k'ebinusu akatamanyikiddwa. Ekitali ku zzaabu, obukalubu mu nsima ya Bitkoini bukyusibwakyusibwa okusinziira ku maanyi g'abalombi okukuuma ensima nga ngereke. Osobola okusima zzaabu mu lunaku lumu, naye ku Bitkoini tekirisoboka ,kompyuta nebwezirifuna amanyi agenkana wa. Okwongera amanyi g'abalombi enteekateeka y'okusima ebinusu gajikyusamu katono.(Obukalubu mu nsima bukyusibwa okulaba nti emiteeko 6 gyejibangibwawo buli ssaawa, naye omuyungagano gyegunaakoma okukula, twandidda ku miteeko 7 ku 8 buli ssaawa).

Bitkoini alinga bbanka: waliwo kompyuta,databeesi n'empanyisiganya. Databeesi zitereka ebyafaayo byonna eby'ensasulagana ezijja n'ezigenda: ani asindikidde ani era amusindikidde mmeka?. Buli kimu kya kompyuta. Teli materekero galimu zzaabu, bibalo byokka ku "lukalala" lumu.

Bitcoin tali nga bbanka: buli omu asobola okukakasa nti databeesi ye elimu olukalala lwelumu n'olwabalala bonna ku muyungagano. Teli mutabaganya ssekinnoomu alina kukakasa nti olukalala terujingiriddwa. Buli muntu asobola okuba ne akawunti zonna zaayagala era akawunti zonna nneekusifu(okujjako ng'oli asazeewo eyiye emanyibwe buli omu). Olukalala terukuuma mannya, wabula balansi na namba za akawunti. Mu ngeri y'emu ,ku lukalala lwa bitkoini tekuli mabanja: ssente oba nazo ku ndagiriro era nga zizo, oba toba nazo nga tosobola kuzikozesa naakamu. N'ekirala, Bitkoini akusobozesa okusiba ssente ng'okozesa "endagaano": buno buba bukunizo bukusike okusaasanya okusalawo mu bantu ab'enjawulo ,oba mu biseera eby'enjawulo.

Bitkoini zilinga nsimbi za Monopoly: ebinusu tebilina muwendo gwebyesigamako. Abantu babirabamu omuwendo lwakuba basalawo okuzannya omuzannyo. Mwattu ate ekyo kyekimu ne zzaabu oba ssente endala zonna.

Bitkoini mwawufu ku nsimbi za Monopoly: waliwo omuwendo omugereke ogw'ebinusu era teli asobola kubicupula. Kino kibifuula ebyamaguzi ebyenkizo nga ebinusu bya zzaabu oba ffeeza.

Bitkoini alinga Git: mu Git(engeri y'okulondoola enkyukakyuka ezikoleddwa mu prograamu za kompyuta) buli kikyusibwa kipangibwa mu lujegere olukuumibwa obukunizo obukusike. Ayeesiga akakunizo akakasembayo, asobola okufuna obubaka bwonna obuyise okuva mu nsonda yonna era n'akakasa nti bwebwo obubaka obusuubirwa. Mu ngeri y'emu, mu Bitkoini, empanyisiganya zonna zipangibwa mu lujegere(blokceyini) era bwezikakasibwa, yonna gyeziterekebwa ,osobola okwesiga ekitundu kyonna ku blokceyini nga olujegere lw'obukunizo obuyunga ku kakunizo keweesiga. Kino kisobozesa okutereka okweyanjadde n'okuziyiza obucupuzi.

Bitkoini mwawufu ku Git: mu ngeri nti buli omu aluubirira kukolera ku ttabi limu. Mu nkola ya Git oli asobola okuba n'amatabi nkumu n'agawaggula n'agatebenkeza nga bwayagadde olunaku lulamba. Mu Bitkoini oli tayinza "kutebenkeza" matabi mawagguufu. Blokceyini mwattu muti gwa byafaayo bya mpanyisiganya, naye nga waliwo ettabi ssematabi(elisinga omuwendo) n'obutabitabi obuliwo mu butanwa(bubaamu emiteeko ejitasoba mu ebbiri) obutalina muwendo gwonna. Mu Git bwino wankizo ku matabi, mu Bitkoini enzikiriziganya ya nkizo ku bwino.

Bitkoini alinga Bittorent: omuyungagano gwa kyetwala, tegulina "mutabaganya" wankomeredde. Blokceyini elinga fayiro ku bittorrent: ekakasibwa mu bukusike n'ebuna kompyuta ez'enjawulo. Buli agy'enyigiramu, nga n'abalombi mwotwalidde, aba akolera ku mudaala gumu ogwenkanankana. Ekitundu ku muyungagano bwekitaataaganyizibwa, empanyisiganya nga ziyita mu bitundu ebirala. Omuyungagano gwonna nebwegutabanguka, ebikwata ku mpanyisiganya bisigala biterekeddwa ku nkumi n'enkumi za kompyuta ez'etengeredde era teli kinusu nakimu kibula. Abantu bwebaddamu okukwatagana, beeyongera kuwanyisiganya nga ewatali kibaddewo. Bitkoini ne Bittorent byombi bisobola okuwona olutalo lwa nukiliya lwansonga nti buli kibikwatako kisoboka buto okulukibwa.

Bitcoin tali nga Bittorrent: mu kifo kya "fayiro" ez'enjawulo ,waliwo fayiro emu egenda ekula: blokceyini. Mu ngeri y'emu abalombi abagy'enyigiramu bafuna ensimbi eza ddala kulw'emirimu gyabwe.

Bitkoini alinga ddembe lya kwogera: buli mpanyisiganya bubaka obusaasaanyizibwa buli wamu mu ngeri yonna. Abalombi abamu bwe babufuna, babugatta ku blokceyini era busigalako lubeerera. Buli omu waakubulaba era mpawo alibusangulawo.

Bitkoini tali nga ddembe lya kwogera: buli kyogerwa kiliko omuwendo. Empanyisiganya etambuza binusu byolina okuba nabyo mu ntandikwa. Katinno ssi nti buli mugwagwa akkirizibwa okwogerwa, okujjako abo abalinawo ku binusu. N'ekirala, abalombi basobola okugaana empanyisiganya bwebaamu okucupula oba nga teliimu bisale bimala. N'olwekyo teli awa mulala ddembe ng'abali mu bbaala, wabula wabaawo enkolagana eya kyeyagalire.

Bitkoini alinga ndagaano ya buntu: buwangwa bwennyini. Zikola nga sente abantu kasita baziyisa bwebatyo era nebaba n'embavu ezikwata n'okugondera amateeka gaazo. Tekinologyiya ayambako buyambi kutuukiriza ndagaano eyo.

Bitkoini talinga ndagaano ya buntu: si zeezino endagaano zebasomesa mu ssomero. Tekyukakyuka, ate terina muyima wankomeredde. Mateeka buteeka buli muntu gaasalawo okussa mu nkola, mu ngeri ey'okutuuka ku ntegeeragana ey'awamu.

Bitkoini ssente za mutimbagano: kyekyo.

Translators
Nasser Snoop

Supporters
HRF