Re: Bitcoin v0.1 gyebava okuteebwa
nga kyawandiikibwa Hal Finney 2009/01/11open in new window
Satoshi Nakamoto nawandiika:
Nangirira enfulumya esooka eya Bitcoin, nga nkozesa mpya eya ssente ezoku'byuma bikalimagezi nga bikwatira wamu, nga ekozesa neetiwaaka yenkolagana y'omuntu ku muntu okwewala ssente ezo okuzisaasaanya emirundi ebiri. Enkozeza eno yona teliko bwananyini bujikulira waade buli mu kompuuta waade mu buyinza obwo'mumakkati.
Laaba screenshots ku bitcoin.org
Link yobifunirako: http://downloads.sourceforge.net/bitcoin/bitcoin-0.1.0.rar
Nkuyozaayoza Satoshi kweno entongoza esooka. Ntunulidde mu masso nga ngigezaako.
Okugatta wona ezinatambula zijja kubeera ebinusu 21,000,000. Zijja kugabibwa ezo nodes eziri ku neetiwaaka buli bwezinakolanga bulooka, nga omuwendo gusaalibwamu ebitundu bibiiri mumakatti buli myaka 4.
emyaka 4 egisooka: ebinusu 10,500,000
emyaka 4 egidaako: ebinusu 5,250,000
emyaka 4 egidaako: ebinusu 2,625,000
emyaka 4 egidaako: ebinusu 1,312,500
mpaka mpaka...
Kyo kinyuma nti enkola eno (sisitiimu) esobola okutegekebwa okukkiriza kwokka ennamba emu esinga obunene nga yey'ebinusu ebisobola ekukolebwa. Era nteebereza ekirowooozo kiri nti obungi bwomulimo ogwetagisibwa okufulumya ekinusu ekipya gujja kweyongera okukaluba ng'obudde bwe bunagenda nga buyitawo.
Ekizibu kimu ekya mangu ddala ne ssente empya zoona kye kyengeri yokuzipima omuwendo. Wadde tubuusa amaaso ekizibu eky'omugaso nti kumpi tewali muntu yenna agya kuzikkiriza muntandikwa, wakyaliwo ekizibu kyokuyiya ensonga enungamu ewagira omuwendo gwonna ogutali kubwerere omutongole nga gwogw'ebinusu.
Nga ekirowoozo ekisanyusa ekyokugezesa, teebereza nti Bitcoin awangula era naafuuka enkola ya sisitiimu eyokusasulirako ekulira ezo zoona ezikozesebwa munsi yoona. Awo'no omuwendo gwa ssente ziino awammu zirina okwenkanankana n'omuwendo gw'obugagga munsi yoona nga obutadde wamu. Okubalirira okuliwo kati kwenakasanga kw'obugaga bwa buli maka munsi yoona nga obugasse wamu buva ku busiriivu 100 obwa ddoola paka ku busiriivu 300 obwa ddoola. Ku binusu obukadde 20, ekyo kiwa buli nusu omuwendo gw'obukadde 10 eza ddoola.
Kale obusoboozi bwokufulumya ebinusu bya Bitcoin leero nga okozesa obussente butiini obwabuliijo ku saawa zokozesa ku kompuuta eyinza okubeera embala ya zaala ennungi'no, nga ensasula ebalibwa ku bukadde 100 ku emu! Waade emikiisa gya Bitcoin okuwangula ku daala lino mitini, ddala kweri bali bukadde 100 ku emu mungerageranya? Kintu kyakulowoozaako.
Hal
The Cryptography Mailing List Unsubscribe by sending "unsubscribe cryptography" to majord...@metzdowd.com