Bitcoin ne Gavumenti ya Kenya mu Byafaayo

nga kyawandikibwa Michael Kimani Kioneki 2022/01/05open in new window

Eno y'enangirira'etegeeza eya Bbanka Enkulu eya Nigeria eziyiza ebitongole ebyensimbi ebilungamye, okuva ku kwanguyiza oby'okusasula ebiva mu bitongole ebifaanyisa ssente za cryptocurrency.

olunaku lw'omwezi gw'okubiiri 5, 2021

Kino kiwandiiko kitegeeza ekifaananako nga ekyo nga kya Bbanka Enkulu eya Kenya ewera Bbanka za Kenya okuva ku kukola kuby'okusasula ebya bizinensi ze ssente ez'ekikugu nga sizakukwatibwa mungaloopen in new window

Nga Omunnakenya ava mu East Africa, siyinza butasekerera mikwano gyange egiva eNigeria. Munkomenkerero, naabo bawulira obulumi bwaffe obw'emyaka 7 egiyisse! Bingi ebyokugyamu waano kale luuno luguwa lw'ebirowoozo byange ebikwatagana.

Omwezi ogwomusanvu 9, 2013

"Kipochi Wallet ey'eKenya yeyali esooka mu kkampuni eza crypto ne Bitcoin eyatongoza ekikozesebwa nga kisobozesa abantu mu Afirika okusindika n'okwaniriiza bitcoins, gatakko okuzikyusa okugenda n'okudda mu ssente ze Kenya eza M-Pesa"

Kipoki etongoza M-Pesa engaseemu akasawo ka ssente za Bitcoin mu Afirikaopen in new window

Tekyali kiseera kiwanvu olwo Bbanka enkulu eya Kenya ne Safaricom Mpesa nebabagwako

"Mu wiiki emu akakwate kaffe ne M-Pesa okuyitira mu mugabi w'obusuubuzi Kopo Kopo yaggalwa. Kyatutwalira okusukka wiiki emu fe okujja okumanya nti Safaricom yali eekase Kopo Kopo okutugalawo.

Omwezi ogwomunaana 2013

"Mu mwezi ogwomunaana 2013, Kipochi yafuna okutegeezebwa mu butongole okuva eri Bbanka enkulu eya Kenya nti baali betaaga okumanya fe baani, kiki kyetwali kukola era kiiki kino ki Bitcoin."

Kiki kyenyini ekyaliwo eKipochi?open in new window

Guno gwegwali omulunddi ogusooka ogwa kkampuni ya Bitcoin mu Kenya okuddukira mu butakanya n'enungamye Bbanka enkulu ey'eKenya n'ebitongole byensimbi ebilungamwe(Safaricom Mpesa).

Ffena twakolera waamu kungeri gwetunafunamu zi bbanka n'abalungamya okukendeeza ku bukwakkulizo bw'okutuka ku akawunti za bbanka. Twali twetaaga ekitongole ekitalimu ludda okuwanirira ensonga eno

Nnaweebwa omulimo okuteekawo omusingi ogutaligwa magoba. Yiino email yolunaku lwa 14th omweezi ogwokutaanu 2014

Kkampuni eyadda kukiso kisalamutwe yali Bitpesa. Bitpesa yatongoza ekikozesebwa kya crypto ekikiriza Abannakenya okugula bitcoins nga bakozesa M-Pesa (oluvannyuma nebanjula eky'enjawulo eky'okutunda bitcoin). Ekikozesebwa era kyeyingira mu kusindika ssenta okuva ku nsalo.

Kino nakyo tekyamala bbanga dene

Omwezi gwa museenene 18, 2015

CBK Circularopen in new window

"Ekigendererwa ky'enkulungo eno kya kuwabula buli kitongole kyebyesimbi obutakolagana ne ssente ezitali zakukwatira mungalo oba okusubulagana naabo abeenyigira mu ssente ezo ezitali zakukwatira mungalo. Temuggula akawunti kulwo yo yena akola mu Bitcoin.

Oluvannyuma lw'ennaku ziizo, Safaricom Mpesa CEO Bob Collymore yayogera nga avumirira essente ezitali zakukwatiira mungalo.

"Tetugya kukiiriza kubeera na nsubulagana ezekusa ku bitcoin waano ku sisitiimu ya M-Pesa okugyako nga ssente ezo ez'ekikugu nga sizakukwatira mungalo zikirizidwa omulungamya w'ebitongole bya bbanka.

Collymore agamba Safaricom tejja kugezessa kabi ka busungu bwa CBK kulwa nsubulagana z'omu bitcoinopen in new window

Kyonna kyalabika nga ekikwatagana

Obutetuusako akawunti ya bbanka oba obuweereza bwomulyango gwa Mpesa (Mpesa gateway) bwalemaza bizinesi ya Bitpesa. Bitpesa ne Lipisha (munne mukukwasaganya omulyango gw'okusasula) batwala ensonga mu kooti.

Empaaba NO.512 ku 215open in new window

Omwezi gwa museenene 28, 2015

Nawandiika ekiwandiiko ky'endowooza mu lupapula lw'amawulire olukulembera mu Kenya olwa The Daily Nation, nga kikuba CBK ku lw'endowooza y'obusirusiru etalabira wala. Nagamba "Myaka 4 okuva kakati abantu bajja kusekerera CBK kulw'ekiwandikoko kino ekisesa"

Bitcoin emu kukiseera ekyo yali ya $450, kulwaleero ya $40,000

Omwezi ogw'ekkumi n'olumu 26, 2015

Omusango ogwawawaabirwa kampuni etandikawo mumirimo gy'ensasula yomu'bitcoin eya Bitpesa, nga eri ne munwanyi wayo nga bakontana ne naggwano Safaricom owa ssente z'oku ssimu, gwawulirwa mu kooti enkulu eya Kenya ku lunaku olw'okubiri.

Kooti enkulu eya Kenya ewulira omusango gwa Bitpesa nga evuganya Safaricomopen in new window

Bitpesa yagamba nti Safaricom "yatiisatiisa" munwanyi waayo mu nziigi zebyobusubuuzi, Lipisha, nagiwaliriza okuyimiriza obuweereza bwayo ku November 12 awatali kutegeeza nga bukyali ekyaletera Bitpesa ne Lipisha okusoomozebwa okwamanyi mu kulabirira bizinesi yaabwe.

Safaricom yagamba nti okuyimiriza kw'obuweereza bwa Lipisha bwali bumativu kubanga Bitpesa yali elemereddwa okufuna olukusa lw'okutanbuuza bitcoin okuva eri bbanka enkulu eya Kenya. Era ekyavaamu, ensuubulagana za Bitpesa eziyita mu Lipisha ne akawunti yayo ku Safaricom zamenya ebiragiro bya AML.

Naye munamateeka wa zi kampuni zoombi yagamba nti Safaricom yali etegedde bubi ebyetaago bya bbanka enkulu. "[Bbanka enkulu] yagamba Bitpesa nti bitcoins tezilungamwa mu Kenya naye Safaricom nelemerako nti efulumya layisinsi ekola ku nsonga eyo.

Omwezi gwa museenene 15, 2015

Bitpesa esingwa omusango

Omulamuzi okuva mu Kooti enkulu eya Kenya yasalawo nti omuddukanya wa M-Pesa ono Safaricom tajja kwetagisibwa kuwa lukusa lugikozesa eri kampuni etandikawo eya Bitpesa mumakkati w'enkaayana z'amateeka ezigenda mu maaso.

Kooti ye Kenya ewanirira ekiteeso okusigaza kampuni etandikawo nga teeri ku M-Pesaopen in new window

Nga tewali lukusa kutuka ku akawunti za bbanka oba ku buweereza bwenziigi za Mpesa ezebyensimbi atte nga zamugaso nyo mu kukola emirimu, Bitpesa mpolampola yakyuka nga eva kukukola bizinesi eKenya.

Bitpesa yali luggi lwamugaso nyo mukutuka ku Bitcoins (okuzigula n'okuzitundda), era okuvawo kwabwe, kwakosa eneyisa y'engeri abakozesa gyebatuuka ku zi bitcoins.

Eyasinga okufunamu zali obutale bwa bitcoin obwenkola ya muntu ku muntu obuteetagga omutabaganya ow'empereza zomu bbanka oba Mpesa.

Local bitcoins yeyasooka okugabula obwetaavu. Laaba ekipandde kino ekyenkula mu bungi okuva Bitpesa lweyagalwawo. Obungi kakati buli mu bukadde 150 buli wiiki.

Olaba, abalungamya baasiluwala era tebakitegerra. Lwogalawo emikutu emitongoole egy'okugula n'okutunda bitcoins, enkola y'obusuubuzi nga kukolagana muntu ku muntu etoola nerinya kubaanga eneyisa ya bitcoin ne crytocurrencies ya kukolagana kwa muntu ku muntu.

Olaba, abalungamya baasiluwala era tebakitegerra. Lwogalawo emikutu emitongoole egy'okugula n'okutunda bitcoins, enkola y'obusuubuzi nga kukolagana muntu ku muntu etoola nerinya kubaanga eneyisa ya bitcoin ne crytocurrencies ya kukolagana kwa muntu ku muntu.

Waano ky'ekipande ekiraga obungi bw'enkolagana za muntu ku muntu eKenya ku katale akalala ak'enkolagana za muntu ku muntu, Paxful. Obungi buli wiiki, obukadde 178 okuva ku wiiki eyakayiita.

Okubera n'entegekka nga Bitpesa, omulungamya asobola okukaka okugobererwa ng'ayiita mu nkola eyokukaka okukola lipoota nga era asobola okubeera nga atambulira ku ssente zoona ezitanbula nga ziyingiira oba bwezifuluma mu bitcoin ne mu cryptocurrencies.

Mu butale bw'enkolagana y'omuntu ku muntu, kya butondde nti ensubuulagana tosobola kugilondoola kubanga ssente zitanbula okuva ku akawunti y'omukozesa omu nezigenda ku akuwunti y'omukozesa omulala. Bbanka, Mpesa oba omulungamya tebasobola kumanya mugaso gw'omuweendo ogusindiikidwa. Atte nga mumazima, gubadde gwa kusubula bitcoin

Local Bitcoins obukadde 150 bwa KES buli wiiki, Paxful obukadde 178 bwa KES buli wiiki, Binance P2P (temanyikiddwa) ]Local Cryptos (temanyikiddwa) Offline trades (temanyikiddwa) Citibank mu 2018 yateesa nti abanakenya bakwaate obuwumbi 163 mu Bitcoin Paxful "Abanakenya basuubude obuwumbi 6 mu 2020"

Olaba, teeri ngeri yakutegera ddala ssente mmeka eziyita, eziyingira natte eziva mu bitcoin ne cryptocurrencies. Kino kye kizibu ekizibuwalidde abalungamya. Balowooza baamagezi okuggalawo emikutu emitongoole, naye kyokka kyebaweereza kyakuyimiriza wagulu omuwendo ogukwekeddwa ogutali mutongoole

Enteebereza yange embalirire eli

obukadde 500 buli wiiki mu bendera ye Kenya eya Kenya ekubisiddwamu mu wiiki 52, nga obuwumbi 25 buli mwaaka.

Enteebereza enbalirire

Okusubula nga nkolagana ya muntu ku muntu eyomu bitcoin ne cryptocurrencies y'engeri yokka ekola newankubadde ekifo bbanka enkulu kyeziyimiriddeko kukino. Kibadde kyamanyi mukutondawo emikisa gy'okufuna ssente mu bavubuka

Laba kino oluguwaopen in new window

Enkolagana ey'omuntu ku muntu n'okusuubula okutali mubutoongole okwa cryptocurrencies nga Bitcoin kyongera ku akabi mu bukuumi bwokumikutu gya internet egyekusa ku nkola y'ebyensimbi bya Kenya kubanga ssente ezikulukutta nga ziyingira bitcoin tezisobola kuddizibwa

Omwezi gw'omusanvu 30, 2020

Omusango gwa Bitcoin mu Milimani Law Courts ez'eKenya gutekawo eky'okulabirakoopen in new window

Kinsanyusa nti abalungamya be Kenya, abakungu n'abakugu mu 'Fintech' balowooza cryptocurrencies osobola 'okuzisenyera wansi w'ekisiimula', nga kyokka kibukkula obusirusiru bwabwe. Nsisinkanye BANGI kubbo mu myaka gyange 7 era TEBAKITEGERRA!

Buli mwaka gwebagayalirira, obungi ebutali butoongole bukula

Omwezi gwa museenene 16, 2020

UGANDA jjuuzi yakoze ennongoosereza mu teeka lya Anti Money Laundering Act 2013 nga lya kuyungako abawa obuweereza mu bugagga obutali bwamungalo. Kyandiba nga kaweefube yekka eyeeyoleka okuva mu gavumenti zo'mukitudu wa kukola ku nsonga ezo waggulu.

oluguwaopen in new window

Omwezi ogwokubiiri 5, 2020 (Lunaku Lwaleero)

Mu ndowooza yange, kulw'enkulungo ya Bbanka enkulu eya Nigeria, tusanidde okusuubira okulaba enkola y'emu nga yejjulira mu Kenya ๐Ÿ‡ฐ๐Ÿ‡ช

Mumazima, nkuba bbetti, tuli mirunddi mingi egy'obunene kubanga Nigeria eri mirundi 10 okusinga obunne bwa Kenya bendera ya Kenya era erina ebyafaayo ebivanvu muby'okukendeeza omuwendo gwa ssenta gatta ko obusuubuzi bwa ssente obutali butoongole

Laba kino oluguwaopen in new window

Olugero luluno kungeri neetiwaaka ezitalintoongole bwezikozesamu neetiwaaka entongoole, okulanga kwo'mumwa ku mumwa ku yintaneti ng'ogaseeko neriinya elimayikidwa okuwagira ensubula ya bitcoin ne cryptocurrencies etali ya ku yintaneeti.open in new window

Ekiwandiiko kikino ku ntambula y'ebyobusuubuzi ebitali bitongole nga yeewoleddwa ku neetiwaaka zaaba Somali Hawala. Kye kimu ddala n'entanbula eziriwo mu Bitcoin crypto ezikozesa okukolagana okwa muntu ku muntu okw'okusuubula nga tekuli mubutongoole (yaade kuli oba tekuli ku yintaneeti)

Engeri abavubuka ba Somali Hawaladars eya Little Mogadishu gyebawumbamu ebiseera eby'omu maaso ebya Bitcoin mu Afirikaopen in new window

"eby'okunoonyereza ebikuล‹ล‹aanyiziddwa okuva ku Coin Dance nga kikoledwa omukutu gw'ensi yonna mu crypto gwebayita Paxful, gulaga nti Nigeria ke katale k'okusuubulirako bitcoin P2P akasinga obunene munsi yonna, nga katwala kumpi ebitundu 52 ku 100 z'emigabo gy'akatale. Mumyaka 5 egiyisse ensuubulagana za bitcoin 60,215 ezibalidwa kumuweendo gw'obukadde $566 obwa ddoola, okugiteeka mukiffo kyakubiiri emabegaga wa Amerika"

"Bino byakunoonyereza bya Paxful yokka, emu ku mikutu emingi ez'enkolagana ya muntu ku muntu ey'okusuubula bitcoin. Mikwano gyange mu Nigeria gingamba nti eby'okukola mukusuubula kwa P2P gyebili NYO okusingawo ebyo ebikwatiddwa mu bibalo ebitoongole.

Mu 2022, Abanigeria baasuubula okuyisa mu bukadde $400 mu beeyi ya crypto ku byokufaanyisa crypto ku mikutu ezokubutakaopen in new window

Bizinesi za crypto eNigeria bendera ya Nigeria zitegeezezza abakozesa baazo nti tebasobola kutuuka ku kuggyayo ssente ezabulijjo nga bayita mu mikutu emilungamye emitongoole.

"Bundle ekoze okuyisa obukadde $85 era newandiisa okuyisa abakozesa 124k mu 2020"

Waliwo omuntu kweri alowooza nti okuwera emikutu gyeby'okusasula emitongoole nga kiva wa zi Bbanka Enkulu kigya kusalako obwagazi bwa bitcoin ne cryptocurrencies? Nga atte beeyi egenda wagulu, n'emikiisa gyonna egyokufunirako ssente gisebukka okuva mu cryptocurrencies, dapps n'engeri zona ezokukola ekyomugaso?

Luno lutalo lwa byabufuzi mu masekkati g'abasika ba bibinja bbanka n'engeri y'okukyusakyusa eyenjawulo eya bitcoin ne cryptocurrencies. Mumyaka gyange gyonna egy'obumanyirivu, ndi mumativu nti bitcoin ne cryptcurrencies bajja kusinga. Gavumenti za Afirika ne zi bbanka tebalina busobozi n'amaanyi agasikiriza tebagalina.

Okyokusalawo kyebalina kyokka kya kwaniriza na kweyunga ku cryptocurrencies nga Bitcoin, nga tekinnabera kikerezi.

Ngenda kugezako okuwaawo nga nsinddikiriza omulongoosa w'ebiwandiiko byange luno oluguwa okululaba nga ekiwandiiko.

/ENKOMERERO

Okufuna ebisingawosomaopen in new window


Supporters
Undisclosed #1